Omusajja e Kamuli awaddeyo yiika y’ettaka kuzimbibweko ettendekero ly’eby’emikono
Oluvanyuma lw’omuwendo gw’abaana abawanduka mu masomero okulinya buli lukya – Wilber Omoding omutuuze ku kyalo Busongole e Kamuli awaddeyo yiika y’ettaka kuzimbibweko ettendekero ly’eby’emikono. Ono akimanyi nti singa abaana bafuna okutendekbwa kyakuyambako okumalawo ebbula ly’emirimu n’okukendeeza obuzzi bw’emisango. Abakakasizza nti teri muntu yenna agenda kubagoba ku ttaka lino.