Omuwala ow’emyaka 16 awuniikiriza abasawo oluvanyuma lwo kukubawo abaana 4
Omuwala ow’emyaka 16 awuniikiriza abasawo mu dwaliro e Butaleja oluvanyuma lwo kukubawo ezadde lya baana 4 newankubadde babadde tebannatuuka kuzaalibwa.
Okusinziira ku basawo, balina okutya oba ng’omwana ono abaasobola okukuza baana banne olw’emyaka gye anti ne taata w’abaana naye tannaweza myaka 18.
Omuwala ono abadde asoma siniya ya kusatu.