Poliisi esabye bannayuganda okuba obulindaala eri eby’okwerinda ku butujju
Poliisi ekakasizza nga okulabula okwakoleddwa ekitongole ky’amawanga amagatte ki United Nations ku bulumbaganyi obuyinza okukolebwa abatujju, bwebabumanyiiko era baludde nga bakolaganira wamu okulaba nga balwanyisa obutujju. Kati basabye abantu Ssekinoomu okwo kwosa abavunaanyizibwa ku bifo by’olukale, okuba obulindaala eri eby’okwerinda byabwe.