Twagala ssente zaffe, ba ddereeva batabukidde omuwandiisi w’ekibiina e Hoima
Abagoba ba taxi abeegattira mu kibiina kyabwe ki Kinubi Drivers’ Cooperative Society basobeddwa olw’omuwandiisi w’ekibiina kyabwe okubuzaabuza ssente z’ekibiina eziri eyo mu bukadde 130. Bano bagamba Iddi Magezi abade akozesa olukujukujju n’atwala ssente zino okuva ew’omuwanika nga okukizuula bamaze kubala bitabo. Kyoka Magezi ebimwogerwaako abyegaanye era ye agamba byabufuzi.