UNATU ekunganyizza ebirowoozo ku nsonga y'omusaala gw'eky'enkanyi mu basomesa
Ekibiina ekitaba abasomesa mu ggwanga ki Uganda National Teachers' Union (UNATU) kimaliriza olukungaana lwakyo olubadde mu munisipaali y’e Kabale. Bano bakubaganyizza ebirowoozo kwebyo byebatuseeko omwaka guno n’okuteesa kwebyo byebalina okutandikirako omwaka ogujja okusobola okulongoosa omulimu gw’obusomesa. Era mu lukungaana luno ssentebe w’ekibiina kino Zadock Tumuhimbise akoonye ku nsonga y’omusaala ekyababobya omutwe. Bano baagala abasomesa bonna basasulwe kyenkanyi okusinziira ku mutendera gwebaliko sosi ku ssomo lyebasomesa