Yiino engekeka empya ey’obubonero bw'ebigezo bya UCE
Okwawukanako nebwegubadde bigenzo by’ensoma enkadde byo eby’ensoma empya tebirina ddaala lisooka oba ery’okubiri nga bwegubadde. Kati abayizi abayise bonna bali mu daala limu libakakasa nti balina okufuna ebbaluwa ya siniya ey’okuna. Ate bbo abagudde beebokka abatayiseeko ssomo lyonna nga bano tebagenda kufuna bbaluwa eno. Mu mboozi eno katumanye omuyizi eyise bwabweera.