EDDY MUTWE NE KIVUMBI MU KKOOTI: Bavunaanwa kwetaba mu dduyiro w’ekinamagye

Gladys Namyalo
1 Min Read

Abakuumi b’omukulembeze w’e kibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu okuli Edward Ssebuufu kko ne Achileo Kivumbi nate baggudwako emisango emirara mu kooti esookerwako eye Kanyanya, newankubadde bakyawerennemba negyokubbisa eryanyi kko nokukuba bannamawulire gyebaddiza e Lwengo omwaka oguwedde.

Bano basimbiddwa mu kkooti akawungezi ka leero ne bavunaanwa okwetaba mu duyiro ow’ekinamagye bwebaali ku kitebe ky’ekibiina e Makerere kavule.

Kati omulamuzi abasabye okukomawo nga munaana omwezi ogujja basabe okweyimirirwa.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *