Minisita omubeezi ow’eby’obulamu, Anifa Kawooya wamu n’omubaka w’e Lwemiyaga, Theodore Sekikubo batonzewo,ekiwayi ky’obukulembeze bwa NRM mu disitulikiti ye Sembabule oluvanyuma, lw’obutakkanya n’ebyo ebyavudde mu kulonda kw’akamyufu okwaddidwamu olunaku lw’eggulo.Bano bategeezezza nti obulembeze bwabwe bugendereddwamu kwetaggulula ku bannamagye abeefuze obukulembeze bw’ekibiina mu disitulikiti.