Ensonga ya ssente ey’ongedde okwefuga enkiiko za ba deligate ba NRM e Luwero nga abanoonya obululu ku lukiiko lwa NRM olwa CEC basisinkana abawagizi okubasaba obuwagizi. N’olunaku lw’eggulo Minisita Haruna Kasolo bweyabadde abasisinkanye okubasaba obuwagizi ku kifo ky’okukikirira Buganda ku CEC era baamukanze sente.Wabula wabaddewo akakyankalano bwewabaddewo ababadde bagala okusika ku musassi waffe Herbert Kamoga camera ng’akwata ebigenda mu maaso, nga tebagala akwate bya kukanda sente, kyoka bamusanze alaba era byonna yabifunye buluungi.