Omubaka akikirira abakozi mu Parliament Charles Bakabulindi yasaanze akaseera akazibu mu District y’e Luwero olunaku lw’eggulo bweyabadde awenja akalulu ka mukamaawe sipiika wa Parliament Annet Anita Among eyegwanyiza ekifo ky’omumyuka wa Sentebe wa NRM ow’okubiri omukyala ku lukiiko lwa CEC. Among yatumye Bakabulindi okumukiririra e Luwero, kyoka abakulembeze ba NRM mu kitundu kino bamutegezezza nga bwebatagala kubanyonyola nsonga ndala yonna wabula baagala sente. Bino byonna nga bigenda mu maaso omusassi waffe waali amoga.