Ssabawandiisi wa NRM Richard Todwong alabudde banakibiina abeegwanyiza ebifo ku lukiiko olwokuntikka mu NRM olwa CEC obutakozesa lulimu luweebula. Todwong agamba nti embeera eno eyinza n’okuviirako abamu okuwandulwa mu lwokaano. Ekibiina leero lwekisisinkanya bonna abeegwanyiza ebifo ku lukiiko lwa NRM olw’okuntikko.