Olwaleero omubiri gw’omugenzi Mary Karooro Okurut eyaliko omubaka omukyala owa Bushenyi kko n’okuwereza ku bwa minisita mu bifo eby’enjawulo gusabiddwa ku kkanisa ya All Saints Cathedral Nakasero. Omugenzi atenderezeddwa olw’okwagala ennyo eggwanga lye, okuweereza obuteebalira, kko n’okubeera omwerufu. Karooro yafa ku bbalaza e Nairobi gyeyaddusibwa okufuna obujjajabi.