Okuzimba ku mwala: Lukwago atabukidde omusuubuzi Kiggundu

Olive Nabiryo
1 Min Read

Loodi mmeeya wa Kampala Erias Lukwago alaze okutya nti amataba mu kibuga Kampala gandyeyongera ssinga omusuubuzi Hamis Kiggundu agenda maaso n’enteekateeka z’okuzimba ku mwala gwa Nakivubo gwonna.

Lukwago agamba nti ono yatandika mpola mpola bweyali agaziya ekisaawe ky’e Nakivubo n’okujjawo akatale ka park yard nga kati ayolekedde kuzimba ku mwala gwonna. 

Gyebuvuddeko Kiggundu ono yategeeza nga emirimu gyakolera e Nakivubo bwegitalina kakwate ku mataba ga mu Kampala.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *