Omupiira: Empaka za CHAN

Olive Nabiryo
1 Min Read

Olwaleero emipiira ebiri egizanyiddwa mu kibinja C eky’empaka za CHAN eziyindira mu mawanga ga East Africa nga ogusoosewo Algeria ne Guinea bagudde maliri nga teri atebye munne ekyongedde okutangaaza emikisa gya Uganda Cranes egy’okwesoga oluzannya lwa quater final. Wetwogererera nga muddakika mbale eziddako, South Africa ne Niger nabo bagenda kubefuka mu mupiira gwa leero ogw’okubiri mu kibinja kino. Wabula ye omuzannyi wa Uganda cranes Hillary Mukundane agamba nti batunuulidde buwanguzi bwokka mu mupiira gwabwe ogw’oku bbalaza nga basamba ne South Africa basobole okuyitawo nga tebayise mu kibalo.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *