Ekibiina kya National Unity Platform, NUP kukungubagidde mmemba waayo Marinos Alexandria afudde mu kiro ekikeesezza leero. Marinos ono ajjukirwa olw’okulumiriza ab’ebyokwerinda okumutulugunya nga bamulanga okuwagira Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi. Emboozi y’ono twagikulagako mu mwaka gwa 2022.