Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Gulu, Raphael Wokorach asabye abazadde okukuumira abaana mu Ekelezia naddala mu kaseera kano ak’oluwummula baleme kutwalirizibwa mulabe sitaani. Okwogera bino, Wokorach abadde akulembeddemu mmisa y’okujjaguza emyaka 56 egy’ekigo kya Our Lady of Africa, Mbuya, nga mu mmisa y’emu aweereddemu n’abaana abasoba mu bibiri e Saakalamentu lya Koofirimansiyo.