Abawagizi ba NRM mu district ya Ntoroko balubudde Ssentebe w’ekibiina kino Prezidenti Museveni okuvaayo mu bwaangu ku nsonga z’emivuyo egisuse egyalabikidde mu kamyufu k’ekibiina akomulundi guno. Bano balabudde nti ekibiina kyolekedde okufiirwa ebifo mu palamenti singa tewabaawo kikolebwa okutereeza embeera. Abamu basabye ekibiina kidde ku nnonda y’okukozesa y’obubokisi okusuula akalulu.