Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja agamba nti omulimu gw’okukola oluguudo oluva e Nateete okudda e Nakawuka gugenda kuddamu wiiki ejja oluvannyuma lwa gavumenti okukola ku nsonga ezibadde zigukandaalirirzza . Omulimu gw’okukola oluguudo luno gubadde guymiridde okumala omwaka mulamba bukya gutongozebwa ekibadde kireetedde abalukozezza okusoberwa. Nabbanja agamba nti ssente ze baali beewoze mu African Developmeti Bank okukola oluguudo luno tezaalimu kuliwa bagenda kukosebwa ekyavaako omulimu okusikattira .