N’okutuusa kati, ebyava mu kamyufu ka NRM ku kifo kya Meeya wa tawuni kanso ye Kyazanga tebinnalangirirwa. Embeera eno yaviirako nabawagizi b’omu ku baavuganya ku kifo kino okwekalakaasa ku lwokutaano. Kyokka abatwala ebyokulonda mu kitundu kino batubuulidde nti ensonga eno egenda kutunulwamu olunaku lw’enkya ku kitebe ky’ekibiina mu ggwanga. Bano era bategeezezza nga bwe waliwo abavubuka abadduka ne Register z’ekibiina ku byalo ebimu nga kye kyabaviirako okulindako okulangirira ebyava mu kamyufu .