OKWAWUKANA KW’ABAFUMBO :Okusaba kw’okuwera obujulizi kkooti ekugobye

Brenda Luwedde
0 Min Read

Kkooti etaputa ssemateeka egobye okusaba okwatekeebwayo abalwanirizi b’eddembe nga basaba ewere ensonga y’obujulizi mu misango egitwalibwayo abaagalanga nga baagala okwawukana.

Abaatwala okwemulugunya kuno bagamba nti omuntu waatukira okujja mu kkooti kiba kitegeeza nti akooye okubeera ne munne, nga kale tewetaagawo bujulizi bwonna busabibwa kkooti kusobozesa kino kibaawo.

Bano balumiriza nti abaagalana bangi bakyabeera wamu lwa buwaze bwa kkooti nga kiyina okuviirako oyo eyakoowa okukola munne obulabe.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *