Waliwo abantu mukaaga abakwatiddwa abagambibwa okuba emabega w’emivuyo gy’okutunda ettaka ly’aba scout e Kaazi mu district ye Wakiso. Bano bakwatiddwa akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwa president oluvannyuma lw’aba scout okuddukira gyebali nga bekuubira enduulu ku bantu abaagala okubatwalako ettaka lyabwe.