Abakulu mu kibiina ki National Unity Platform boogedde ku mugenzi Alexandria Marinos nga abadde omukyala omulwanirizi w’eddembe ly’obnuntu ataatya kufa ne mukaseera ak’okutulugunyizibwa. Omubiri gw’omukyala ono olw’eggulo lwaleero gusabiddwa ku kutebe ky’ekibiina e Makerere – Kavule,nga eno bannakibiina gyebasinzidde nebakolokota nnyo ebitongole byebyokwerinda okuli amagye ne poliisi olw’okwefuula binantagambwako nga biriisa abantu baabulijjo akakanja.