Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago atubuulidde nga bwawandiikidde Kaliisoliiso wa Gavumenti, akulira oludda oluvunganya mu Palamenti kko n’ekitongole ki NEMA bayingire mu nsonga za Ham okukuba ebibaati ku mwala gw’e Nakivubo.Lukwago okuvaayo kiddiridde okukitegeerako nti mu gandaalo lya wiiki eno Ham yakubye ebibaati ku mwala guno gwonna okumpi n’ekisaawe ki Ham Stadium ekyali kimanyiddwa nga Kakivubo War memorial stadium awatali kufuna lukusa okuva eri abakugu.Yye Hamis Kigundu nakakano akyefudde kyesirikidde ku nsonga zino.