Abakulembeze mu disitulikiti y’e Napak abatadde gavumentti ku nninga eyongere okwekenenya enteekateeka zaayo zetwala mu bintu byabwe kubanga ezisinga obungi tezinaba kuvaamu miganyulo gyebali.Bagamba nti ekisinga okubenyamiza kwekuba nga bawulira Pulojekiti nyinji eziretebwa gavumenti mu kitundu, kyoka nga bwozibuuza abatuuze mpaawo azimanyi.Twogeddeko n’abatuuze mu kitundu kino.