Ekibiina ki NRM leero kyanjudde ekifaananyi ekitongole kyebagenda okwesigamako okuwenjeza akwatidde ekibiina bendera Yoweri Kaguta Museveni mu kulonda kwa 2026.Batugambye nti nga beesigama ku ngombo egamba nti -“Okukuuma ebituukiddwako , nga tusimbagiriza okuyingira omutendera gw’amawanga agali yaddeyaddeko mu byenfuna” baakubuna buli katundu ka ggwanga nga bawenjeza omuntu waabwe akalulu.Amyuka Ssentebe wa NRM asooka, Alhajji Hajji Moses Kigongo agambye nti bwebaba bakutuuka ku kino bannakiniina balina okukokama okwerumaruma bonna bakolerere bulungi bwa kibiina.