Akakiiko ka NRM akateekebwawo okuwulira okwemulugunya ku miviyo egyetobeka mu kulonda akamyufu k’ekibiina kakasizza munnamagye Emmanuel Rwashande nti yagenda okukwatira ekibiina bendera mu kalulu kati akabindabinda aka 2026. Okusinziira ku kakiiko, Omubaka Theodre Ssekikubo eyatwala okwemulugunya kwe gyekali, yalemereddwa okubayaayo yadde ensonga erimu akanigguusa kwebayinza okusinziira okusazaamu obuwanguzi bwa Rwashande.