Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja alagidde abasuubuzi okuggula amaduuka gaabwe olunaku olw’enkya nga enteseganya ku nsonga ezikedde ookubajja mu mbeera bwezikolwako.Bino bikkaanyiziddwako mu nsisinkano gyabaddemu nabakulira ekibiina ki KACITA , okusala entonto ku butya bwebagenda okukendeeza ki binyiiza abasuubizi batuuke nokuggala amaduuka gaabwe.Tukitegedde nti enkya ssabaminisita ono wakusisinkana abasuubuzi bonna,bwebanaava awo basisinkane n’omukulembeze we gwanga era ku nsonga y’emu.