Omulamuzi Emmanuel Baguma bannamateeka ba Dr. Besigye ne Lutale gwe babadde baagala ave mu musango gw’abantu baabwe akalambidde nga bw’atagenda kuva mu musango guno nga asinziira ku nsonga ze baawa ezimugobya mu omusango z’agamba nti teziriimu ggumba. Nti nga bannamateeka, tebalina lukusa lwesalirawo mulamuzi alina okuwulira n’atalina kuwulira misango gyabwe.Bannamateeka bagamba si baakugenda mu maaso ga mulamuzi Baguma.