Abakulu mu kibiina mi NRM batubuulidde nti manufesito gyebagenda okwesigamako okuwenja akalulu ka 2026 – 2031 egenda kwesigama nnyo ku kibiina byekisobodde okutuukiriza bukyanga kijja mu buyinza mu 1986. Abali ku mulimu gw’okubaga menufesito eno batugambye nti okukakasa bannayuganda nti bakola bategese olukalala lwa buli kisuubiza gavumenti kyezze yeeyama nekituukiriza, olwo bannyuganda basinziire okwo okubeesiga babongere ekisanja ekyomusanvu Singa tewabaawo kikyuka, obutasukka mwezi gujja manufesto ya NRM eyomwaka 2026- 2031 ejja kuba wfulumye.