Eyegwanyiza ekifo ky’omubaka w’abavubuka mu ggwanga Fiona Nakku aziimudde ekiragiro ky’akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda eky’okumuggya mu lwokaano nga balumiriza nti emyaka gyalina tegimuwa nkizo kwesimbawo. Nakku ono yaggyibwa mu lwokaano nga akakiiko kagamba nti waliwo obujulizi obulaga nti emyaka gy’ekivubuka giri mu kumuwuubira kawero ekintu ye ky’awakanya nga agamba nti akyali muto. Obujulizi obwaleetebwa bulaga nti ono yazaalibwa mu 1994 kyokka ye alumiriza nti ebiwandiiko kw’azze akulira biraga nti yazaalibwa mu 1997.