Omukulembeze we ggwanga Yoweri Museveni abuulidde abavubuka nti singa bakunga bulungi bannayuganda ne balonda gavumenti ya NRM mu kulonda kwa 2026 ky’asookerako kwe kukakasa nti mpaawo addamu kusasula munwe ggwa nusu mu masomero ga gavumenti.Pulezidenti agamba nti newankubadde enkola eno baagitandika dda, naye abakulira amasomero abamu babadde bakyasaba abazadde ssente,ekimenya amateeka.Bino okubyogera pulezidenti abadde kololo mu kulonda kw’abakulira obubondo bw’ekibiina, kko n’abagenda okukwatira ekibiina bendera ku mutendera gw’abavubuka, abakadde , abaliko obulemu kko n’abakozi.