Tukitegedde nti ab’ekitongole ki Aga Khan Foundation baakuzimba eddwaliro eriri ku mutendera gw’ensi yonna mu ggwanga kikendeeze ku bannayuganda ababade batawaana okugenda ebweru w’eggwanga okujanjabwa endwadde enkambwe. Batubuulidde nti eddwaliro lino lyakussa nnyo essira ku ndwadde okuli ez’omutima,Sukaali,kookoolo kko n’endala.Okutema evvuunuke ku kuzimba eddwaliro lino kwakukolebwa His Highness Karim Aga Khan IV ku lwokuna lwa sabiiti eno e Nakawa.