Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Joel Ssenyonyi, alumirizza Ssaabawaabi wa gavumenti Jane Frances Abodo, okulemwa okuteeka ekiragiro kya kooti ensukkulumu mu nkola, ekyamulagira okukyusa emisango gyonna egyali mu kooti y’amaggye gyikolebweko kooti ezabulijjo.Ono agamba nti abantu ennaku zino kizibu ddala omuntu okuweebwa akakalu ka kooti, nga bino byonna biva ku bunafu bwa mukyala ono.Bino ssenyonyi okubyogera, Abodo abadde alabiseeko eri Palamenti akasunsulwa ku kifo ky’akulira abalamuzi ba kooti enkulu ekyamuweereddwa omukulembeze we ggwanga.