Alipoota eraga nti bannayuganda obukadde 11 tebalina kyebamanyi ku by’okusoma n’okuwandiika

Brenda Luwedde
1 Min Read

Waliwo okunoonyereza okukoleddwa n’ekizuuka nga bannayuganda abakola obukadde kumi na kamu mu emitwalo kkumi na mwenda tebamanayi kusoma na kuwandiika, kyoka nga eky’ennaku abasinga obungi bakyala.

Kizuuse ng’abakyala obukadde musanvu tebayinza wadde okuwandiika mannya gaabwe, kyoka nga ku luddwa lw’abasajja abatamanyi kuwandiika na kusoma bali obukadde busatu mu emitwalo kyenda bokka. 

Okumalawo omuwaatwa guno minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu Peace Mutuuzo agamba nti okwongera amaanyi mu kusoma kwabakulu lye ddagala .

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *