Akakiiko ka COSASE kanenyezza KCCA okukandaaliriza abateekamu okusaba

Brenda Luwedde
1 Min Read

Akakiiko akalondoola enkola y’emirimu mu bitongole bya Gavumenti ka COSASE kanenyezza abakulu mu KCCA okulwawo okutunula mu pulaani z’abantu abaagala okuzimba mu Kampala.

Kitegeerekese nga KCCA bwetwala ennaku 117 okutunula mu kusaba kw’abo abaagala okuzimba mu Kampala nga kirowoozebwa nti okukandaalirizibwa kuno kwe kwawaliriza omusuubuzi Hamis Kiggundu okuddukira ew’omukulembeze w’eggwnga ku by’okuzimba ku mwala gw’e Nakivubo. 

Akakiiko era kayisizza ebiragiro by’okukwatibwa kw’akulira Police enoonyereza ku misango mu KCCA, Richard Mugwisagye, olwokulemererwa okulabikako gye kali.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *