Pulezidenti wa Democratic Party era nga ye Minisita w’ebyamateeka, Norbert Mao asabye ebibiina by’obufuzi ebizze bisaba ennongoosererza mu mateeka gebyokulonda ageggwanga bisooke byetereeze byokka nabyokka okusobola okuleetawo enkyukakyuka esaanidde. Ngajuliza emivuyo egyalabikidde mu kulondo lw’okuliiko olw’okuntikko olwa NRM, Mao ategeezezza nti ennongoosereza ne bwezinaakolebwa nga bannabyabufuzi mu bibiina bino tebakyusizza neeyisa yaabwe, akalulu kakubaamu vvulugu. Ono asinzidde mu lukungaana lw’abamawulire mu Kampala.