Akakiiko k’eby’okulonda mu ggwanga kategeezezza nti ebibiina by’obufuzi musanvu kko n’abeesimbyewo ku bwannamunigina munaana be bakakomyawo emikono gye bakungaanyizza mu ggwanga. Olwaleero, aba NRM ne FDC nabo bazzizzaayo emikono gyababakwatidde bendera ku ky’omukulembeze w’egganga.