Tukitegedde nti webuzibidde nga abantu 8 bebakakasiddwa nti bebagenda okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga.Olwaleero lwe lubadde olunaku lw’okusunsula abantu bano olusembye nga luweddeko abantu abalala bataano be basunsuddwa.Ku bano kubadde Robert Kyagulanyi owa NUP, Nathan Nandala Mafabi owa FDC, Gregory Mugisha Muntu owa ANT, Mubarak Munyagwa owa Common Man’s Party beppo Frank Bulira owa Revolutionary Peoples Party.