Mu mwaka 2021 Robert Kyagulanyi Ssentamu yali omu ku bantu 11 abeesowolayo okwegwanyiza entebe y’obwa Pulezidenti – obwanga nga babwolekeza Yoweri kaguta Museveni era eyali Pulezidenti.Kyoka abatunuulira ebyokulonda bagamba nti bukyanga kulonda kubaawo mu ggwanga, tewabangawo kakuyege yalimu kuyiwa musaayi , na kusika muguwa nga ekyalabikira naddala mu kakuyege wa kyagulanyi.Tuzizzaayo akatambi e mabega katono- okwejjukanya ku bimu kwebyo ebyali mu kakyuge wa Kyagulanyi – asusunsuddwa olwaleero okuvuganya ku bwa pulezidenti nate.