Olugendo lw’akwatidde ekibiina ki NUP bendera mu kalulu k’omukulembeze w’eggwanga Robert Kyagulanyi, oyinza okugamba nti lubadde lujjude esannyu, okusaakaanya, wakati mu by’okwerinda eby’amaanyi.Kyokka olwaleero okutwaliza awamu abakuuma ddembe tebakoze efujjo ku batuuze Kyagulanyi gyayise.Ono abadde awerekeddwako mukyalawe Barbra Itungo Kyagulanyi nabalala.