Ssabadduumiza wa Poliisi Abbas Byakagaba aweze nga ekitongole kyakulembera bwekigenda okufaafaagana na bonna abeesomye okukola effujjo mu biseera by’akalulu ka 2026.Byakagaba abadde asisinkanye bambega ba poliisi abanoonyereza ku buzzi bw’emisango okubalambika ku nkola y’emirimu mu kiseera kino. Ono agamba nti baakukola kyonna ekisoboka okulaba nga wabaawo emirembe mu kiseera kyakalulu.