OKUSUNSULWA KU BWA PULEZIDENTI: Aba NRM ne FDC basuze bulindaala, bategese okuyisa ebivvulu

Gladys Namyalo
1 Min Read

Abagenda okusunsulwa okuvuganya ku kifo kyomukulembeze we ggwanga okutandika nolunaku olwenkya basuze beesunsa kko n’okutekateeka engeri gyebagenda okutuuka e Lweza.Tukitegedde nti bannakibiina ki NRM beegase ne bannakisinde ki Patriotic League , kyoka nga newankubadde tebagenda kuwerekera mukama waabwe nga agenda e Lweza, ebivulu bakubiyisiza mu kampala , oluvanyuma bamulindire e Kololo ayogereko gyebali.Ng’ogyeko bano ne banna FDC nabo batubuulidde nti omuntu waabwe abakwatidde bendera Nathan Nandala Mafaabi olumala okusunsulwa akakiiko kebyokulonda wakutuukira ku kisaawe ki Kampala Road ekiri okumpi ne Butabika mu Nakawa.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *