Akakiiko K’ebyokulonda leero kafulumizza enteekateeka zekagenda okugoberera mu kusunsula abanaavuganya ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga okutandika olunaku lwenkya.Tukitegedde nti enkya ku lwokubiri akakiiko kaakusunsula abantu basatu, okuli Yoweri Kaguta Museveni owa NRM, Robert Kasibante Owa National Peasants Party kwossa Joseph Elton Mabiriizi wa Conservative Party.Olwo Nathan Nandala Mafaabi owa FDC, ne Robert Kyagulanyi owa NUP basunsulwe ku lw’okusatu.