Ekibiina ki NUP kitubuulidde nga akakiiko k’ebyokulonda bwe kabawadde ebbaluwa ekakasa nti batuukirizza ebisaanyizo byonna ebyetaagisa omuntu waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu okusunsulwa okuvuganya ku ky’omukulembeze w’eggwanga.Bano baategeezebwa nga bwe baliko emikono egyali gitaweze gye bamaze ennaku nga baddamu okukungaanya.Kyagulanyi wakusunsulwa akakiiko k’ebyokulonda ku lunaku olwokusatu so si ku Lwokubiri nga bwe kyasooka okutegeerekeka.