Ttiimu ya Kawempe Muslim Ladies ekubye She Corporates ggoolo 2-0 mu gumu ku mipiira gya liigi y’abakyala abazannya omupiira gw’ebigerere, Finance Trust bank women super league oguzannyiddwa olw’aleero ku FUFA Technical Centre e Njeru.Ggoolo eziwadde Kawempe obuwanguzi zombi ziteebeddwa omuzannyi Latiifa Nakasi mu kitundu ekisose. Kati bano balinnye ku kimeeza kya liigi n’obubonero 16 so nga yo She Corporates ezze mu ky’akusatu n’obubonero 13.
Ttiimu ya Kawempe Muslim Ladies ekubye She Corporates ggoolo 2-0
0 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found
