Akakiiko k’ebyokulonda mu NUP kagamba nti kamalirizza okusunsulamu abantu abanaakwatira ekibiina bendera ku bifo by’ababaka ba palamenti.Batubuulidde nti nga ogyeeko abalwadde nga Betty Nambooze abasinga bawedde, kyokka nga abalwadde babawadde obudde basobole okuwona nga tebanaba kugasimbagana na kakiiko.NUP eno ekyefudde kyesirikidde ku muwendo gw’abantu abasunsuddwa.