Wetwogerera ng’oluguudo oluyita e Sironko okutuuka e Kapchorwa luggaddwa, nga kino kivudde ku nkuba eyatonyye akawungeezi k’eggulo olutindo lwe Nalugugu ne lugwamu. Mu nkuba eno tukitedde nti waliwo n’omuvubuka ow’emyaka 20 eyafudde bweyabadde agezaako okutaasa abaana bamuliraanwa abaabade batwalibwa amazzi agabooze.Tukukitegedde nti abantu abasukka mu 2500 bebakoseddwa amataba agazze ne nkuba eno.