Waliwo abalokole mu district ye Masindi abalumiriza RDC wabwe Darius Nandinda,okukozesa olukwesikwesi okubagoba ku ttaka lyabwe eriweza yiika 7 kwebawangalidde okuva mu mwaka gwa 2005.Nga bakulembeddwamu pasita waabwe Fred Tumusiime,bekubidde enduulu eri gavumenti ebayambe ku musajja gwebagamba nti mukisera kino amakubo agabatuusa ku kkanisa yabwe yagagadde,kabuyonjo zebakozesa yazimenye,essomero abaana mwebabadde basomera nalyo yaligadde nga kati basobeddwa.Mu kwanukula,RDC Nnandinda atugambye nti ekimukozesa bino byonna kwekwekengera kweyafuna ku kanisa eno ng’etandise okusenza abantu okuva ebule nebweya ate nga balwadde bayi.