Agasirwe ne Minana batabukidde omulamuzi mu kkooti

Brenda Luwedde
1 Min Read

Abaserikale ababiri abavunaanibwa ogw’okutta eyali amyuka ssaabawaabi wa gavumenti Joan Kagezi okuli Nixon Agasirwe ne Abdulnoor Ssemujju eyeeyita Minana bakyebuuza lwaki oludda olubavunaana n’okutuuka kati terufunanga bujulizi bubaluma mu musango guno.Kino bakisimbuliza ku ky’okuba nti bakulungudde emyezi esatu mu nkomyo nga buli lwe balabikako mu kkooti, omuwaabi wa gavumenti abazza mu ‘tukyanoonyereza’.Mu lutuula lwa kkooti luno, omuserikale Minana atuuse n’okuva mu mbeera n’amenya amannya g’abanene b’alumiriza nti be baamusindika okutta Kagezi.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *