Enkya ya leero abayizi 818,010 beebakedde okutuula ebigezo eby’akamalirizo ku mutendera gw’ekibiina eky’omusanvu mu ggwanga lyonna. Abakulira ekibiina ekiddukkanya ebibuuzo mu ggwanga ki Uganda National Examination Board batugambye nti webuwungeeredde nga mpaawo kusomooza kwamaanyi kwebafunye, kyokka nebalabula naddala abakulu b’amasomero okwewalira ddala ebikolwa eby’okubbira abaana ebigezo. Kati guno gwemuteeko gw’abayizi ogw’okubiri okutandika ebigezo eby’akamalirizo omwaka guno, nga abasooka baali ba siniya yaakuna.
Ebya P.7 bitandise: UNEB egamba tewabadde kusoomoozebwa kw’amaanyi
0 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found
